1 Kings 9:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo kabaka w'e Misiri yali alumbye n'awamba Gazeri. Yakiteekera omuliro n'atta abatuuze baamu Abakanaani, n'akitonera muwala we bwe yali ng'afumbirwa Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we nga ekirabo bwe yafumbirwa Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri yali alumbye Gezeri n'akiwamba, n'akyokya omuliro, n'atta Abakanaani abaakirimu, n'akiwa muwala we okuba omugabo gwe bwe yafumbirwa Solomooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo kabaka w'e Misiri yali atabadde n'amenya Gezeri n'akyokya omuliro n'atta Abakanani abatuula mu kibuga n'akiwa muwala we muka Sulemaani okuba omugabo.