1 Kings 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ebibuga bye byonna eby'amawanika ga Solomoni, n'ebibuga by'ebigaali bye, n'ebibuga by'embalaasi ze, na buli kyonna kye yayagala okuzimba mu Yeruzaalemu ne mu Lebanoni ne wonna mu nsi gye yafuganga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ebibuga eby'okuterekangamu ebintu, n'ebibuga by'amagaali ge, n'ebibuga by'abasajja be abeebagala embalaasi, n'ebyo byonna Solomooni bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemu ne mu Lebanooni, n'awalala mu matwale ge gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina n'ebibuga eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi n'ebyo Sulemaani bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi olw'okwesanyusa ne ku Lebanooni ne mu nsi yonna gye yatwala.