1 Kings 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ezzadde lyabwe eryali likyasigaddewo, abo Abayisirayeli be baalemwa okuzikiriza, Solomoni yabassa ku kasanvu ng'abaddu n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abaisiraeri be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Sulemaani be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bazzukulu baabwe abaabaddira mu bigere mu nsi eyo, Abayisirayeli be bataayinza kusaanyizaawo ddala, abo Solomooni be yakozesa emirimu egy'obuwaze, era be bagikola ne leero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaana baabwe abaasigala oluvannyuma lwabwe mu nsi abaana ba Isiraeri be bataayinza kuzikiririza ddala, abo Sulemaani be yasoloozaako abaddu ne leero.