1 Kings 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Solomoni teyakkiriza Muyisirayeli kubeera muddu wa munne, wabula Abayisirayeli babeeranga batabaazi mu ggye, baweereza be, bakungu be, bagabe be, baduumizi ba bigaali bye na beebagazi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Sulemaani abaana ba Isiraeri bo teyabafuula baddu; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami, n'abakulu mu maggye ge, n'abaami b'amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Solomooni talina n'omu ku Bayisirayeli gwe yafuula muddu, wabula baabanga balwanyi mu ntalo, na baweereza be, na baami, na bakulu mu magye ge, na bafuzi ba magaali ge, era na basajja be abeebagala embalaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Sulemaani teyafuula baddu ku baana ba Isiraeri; naye baabanga basajja balwanyi n'abaweereza be n'abakulu be n'abaami be era abaafuganga amagaali ge n'abasajja be abeebagalanga embalaasi.