1 Kings 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Faraawo bwe yayambuka ng'ava mu Kibuga kya Dawudi, n'agenda mu nnyumba ye gye yali amuzimbidde, olwo Solomoni n'azimba Millo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo Sulemaani n'azimba ne Miiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwala wa kabaka w'e Misiri bwe yamala okuva mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka mu lubiri lwe, Solomooni lwe yamuzimbira, olwo Solomooni n'azimba ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda, ekiyitibwa Millo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye muwala wa Falaawo n'ava mu kibuga kya Dawudi n'ayambuka n'ajja mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde: awo n'azimba Miiro.