1 Kings 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mwaka Solomoni, yaweerezanga emirundi esatu ebitambiro ebyokye n'ebitambiro eby'okussa ekimu ku mwaliiro gwe yali azimbidde Omukama; okwo yagattangako okunyookeza Omukama obubaani. Bw'atyo n'amaliriza Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirundi esatu buli mwaka, Sulemaani n'awangayo, ku kyoto kye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emirundi esatu buli mwaka, Solomooni n'awangayo, ku alutaari gye yazimbira Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Era n'anyookerezanga obubaane ku alutaari eyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamaliriza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Sulemaani n'awangayo emirundi esatu buli mwaka ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, ng'ayotereza obubaane wamu ku kyoto ekyali mu maaso ga Mukama. Bw'atyo bwe yamala ennyumba.