1 Kings 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Mpulidde essaala yo n'okuwanjaga kwo mu maaso gange; ekiggwa kino ky'ozimbye nkitukuzizza era nkitaddemu erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna. Amaaso gange n'omutima gwange bya kubeeranga eyo bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Sulemaani nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza Yeekaalu eno gy'ozimbye okusinzinzagamu erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga ku yo enaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Mpulidde by'onsabye, n'okwegayirira kwo ng'oli mu maaso gange. Ntukuzizza Essinzizo lino ly'onzimbidde, libe ery'okunsinzizangamu ennaku zonna. Nnaaliteekangako amaaso gange n'omutima gwange obutasalako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo n'okwegayirira kwo kw'osabidde mu maaso gange; ntukuzizza ennyumba eno gy'ozimbye okuteeka omwo erinnya lyange emirembe gyonna; n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeerangayo obutayosangawo.