1 Kings 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli ŋŋenda kumugoba mu nsi gye nabawa, n'ekiggwa kye natukuliza erinnya lyange ndikikasuka kinve mu maaso. Yisirayeli agenda kufuuka lufumo, eky'okusekerera mu mawanga gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; ne Yeekaalu eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri alifuuka lufuumo era ekisekererwa mu mawanga gonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo ndiggya Abayisirayeli mu nsi gye mbawadde, era ndyabulira Essinzizo lino lye ntukuzizza bansinzizengamu. Yisirayeli erifuuka eky'okufumwako enfumo n'ekisekererwa mu mawanga gonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ndimalawo Isiraeri mu nsi gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigiggyawo mu maaso gange; kale Isiraeri aliba lugero na kigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna;