1 Kings 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde Ekiggwa kino kya kitiibwa, buli yenna aliba ayise wano, kirimuwuniikiriza n'afuuwa ekiwa, n'abuuza nti: ‘Lwaki Omukama yakola ati ensi eno n'Ekiggwa?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Yeekaalu eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo ne Yeekaalu eno?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essinzizo lino newaakubadde ligulumivu bwe liti, naye buli anaaliyitangako, aneewuunyanga n'akwata ku mumwa ne yeesooza. Era banaabuuzanga nti: ‘Lwaki Mukama yakola bw'atyo ensi eno n'Essinzizo lino?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ennyumba eno newakubadde nga mpanvu bw'eti, naye buli anaagiyitangako aneewuunyanga n'asooza; era balyogera nti Mukama kiki ekimukozezza ensi eno bwe kityo n'ennyumba eno?