1 Peter 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi abaalanga eneema gye mwali mujja okufuna, baanoonyereza ne beekebejja okulokoka kuno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi baafuba nga bwe baasobola okuvumbula era n’okutegeera okulokolebwa kuno, ne bategeeza eby’omu maaso ku kisa kya Katonda ky’agenda okubawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannabbi abaategeezanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli, baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga eby'obulokozi buno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'okulokoka okwo, abalanzi abaalanga ekisa ekyo Katonda kye yali agenda okubakwatirwa mmwe, baabirowoozangako nnyo, ne babyekenneenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga: