1 Peter 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabikkulirwa ne bategeera ng'omulimu baali tebakola beeweereze, wabula baweereze mmwe okubatuusaako ebyo kati ababayigiriza Evangili bye bababuulirira ku bwa Mwoyo Mutuukirivu eyatumibwa ng'ava mu ggulu, ebintu ne bamalayika bye beegomba okutunulako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi bano Katonda yabalaga nti ebyo tebabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. Era kaakano Enjiri ebuuliddwa gye tuli ffenna. Yatubuulirwa mu maanyi ga Mwoyo Mutukuvu eyava mu ggulu. Bino by’ebintu ne bamalayika bye bayaayaanira okutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yabalaga nti ebyo tebaabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. By'ebyo kaakano bye mubuuliddwa abo ababategeeza Amawulire Amalungi ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, eyatumibwa okuva mu ggulu. Era by'ebyo bamalayika bye beegomba okulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.