1 Peter 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba Katonda mumukowoola nti Taata, oyo alamula buli muntu nga teyeekubiira ng'asinziira ku by'akola, mweyise n'obwegendereza mu budde buno nga muli eyo ku ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujjukire nti Kitammwe gwe musaba, asalira omusango buli muntu awatali kusaliriza, musaana mumusseemu ekitiibwa, nga mwetwala ng’abagenyi ku nsi kuno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga Katonda mumuyita Kitammwe, ate ng'asala omusango awatali kusaliriza, ng'asinziira ku ebyo buli muntu by'akola, kale mumussengamu ekitiibwa ekiseera kyonna eky'obulamu bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise: