1 Peter 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanyi nga mwanunulibwa okuva mu ngeri ezitaliimu kantu ze mwaggya ku bajjajjammwe, si na bintu ebiggwaawo nga zaabu oba ffeeza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mumanyi nti mwanunulibwa mu mpisa zammwe embi ezaava ku bajjajjammwe. Temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo nga ffeeza oba zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi nga ffeeza oba zaabu ebiggwaawo, si bye byabanunula mu mpisa zammwe ezitaliimu, ze mwafuna ku bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe;