1 Peter 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula n'omusaayi gwa Kristu ogw'omuwendo ng'ogw'akaliga akataliiko bbala oba ekizigiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula mwanunulibwa n’omusaayi gwa Kristo ogw’omuwendo omungi ennyo, ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo oba ebbala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi ogwa Kristo, ogulinga ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanunulibwa musaayi ogw'omuwendo ennyo, omusaayi gwa Kristo, ali ng'omwana gw'endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo: