1 Peter 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda Taata be yalobozaamu okuva edda n'abatukuza mu Mwoyo Mutuukirivu bagondere Yezu Kristu era bamansibweko omusaayi gwe. Eneema ebeere nammwe n'emirembe gyeyongere obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda Kitaffe be yasooka okumanya ne batukuzibwa Omwoyo olw’okugondere Yesu Kristo, era ne balongoosebwa n’omusaayi ggwe, ogwabamansirwako. Ekisa n’emirembe byeyongerenga mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaalondebwa okusinziira ku kutegeerwa Katonda Kitaffe, n'okutukuzibwa kw'Omwoyo, olw'okugondera Yesu Kristo n'okumansirwako omusaayi gwe, ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva edda Katonda Kitaffe yabalonda mmwe, Mwoyo Mutuukirivu abatukuze, muwulire Yesu Kristo, era mumansibweko omusaayi gwe. Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa, era n'okubawa emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.