1 Peter 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okugondera amazima, emyoyo gyammwe mwagitukuza, ne musobola okwagalana ng'abooluganda, mwagalanire ddala nga muggyira ddala mu mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima ogutuukiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe nga mukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala ng'abooluganda, mweyongere okwagalana n'omutima ogutaliimu bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n'okufuba okungi: