1 Peter 1:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwazaalibwa buggya, nga temuzaalibwa zzadde eriggwaawo, wabula ezzadde eritaggwaawo, kye kigambo kya Katonda ekiramu ekisigalawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Ekyo ekiggwaawo si kye kyabazaala, wabula mwazaalibwa ekyo ekitaggwaawo: kye kigambo kya Katonda ekiwa abantu obulamu era ekyolubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.