1 Peter 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti abantu bonna muddo, n'ekitiibwa kyabwe kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo.” Omuddo gukala, n'ekimuli ne kigwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga, “Abantu bonna bali ng’omuddo, n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga “Abantu bonna bali ng'omuddo, N'ekitiibwa kyabwe kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ekyawandikibwa bwe kigamba, “Abantu bonna bali ng'omuddo, n'ekitiibwa kyabwe kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Omubiri gwonna guli ng'omuddo, N'ekitiibwa kyagwo kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa: