1 Peter 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bigeze ensa eri mu kukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga ne zaabu, newandibadde ng'alongoosebwa mu muliro, naye era aggwaawo, kusobole okugulumizibwa, okutendebwa n'okussibwamu ekitiibwa luli Mukama waffe Yezu Kristu lw'alirabika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okugezebwa okwo kulyoke kulage nti okukkiriza kwammwe kwa mazima. Ne zaabu aggwaawo, naye agezebwa mu muliro. N'okukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga zaabu, kuteekwa okugezebwa, kulyoke kusaanire ettendo, n'ekitiibwa, n'okugulumizibwa, ku lunaku Yesu Kristo lw'alirabikirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa: