1 Peter 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temumulabangako, sso mumwagala; na buli kati temunnamulaba, sso mumukkiriza ne mujaganya n'essanyu eritayogerekeka ery'ekitiibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Yesu oyo temumulabangako, kyokka mumwagala, era ne kaakano temumulaba naye mumukkiriza ne mujjula essanyu eritayogerekeka ne mumugulumiza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde temumulabangako naye mu mwagala; gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu oyo mumwagala, newaakubadde temumulabangako. Mumukkiriza, newaakubadde temumulaba kaakano, ne mujjula essanyu ery'ekitalo era eritalojjeka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: