1 Peter 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Edda temwali bantu abali awo, naye kati muli bantu ba Katonda; edda mwali temugiriddwa kisa, naye kati mugiriddwa ekisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda; abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda. Edda mwali temusaasirwa Katonda, kyokka kaakano abasaasidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.