1 Peter 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mweyisenga bulungi nga muli mu b'amawanga; bwe banaaboogerangako ng'ababi, beerabireko bennyini ku bikolwa byammwe ebirungi batendereze Katonda ku lunaku olw'okulambulirwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munywezenga empisa zammwe ennungi mu b'amawanga, nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwalirabikirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukuumenga empisa zammwe ennungi, olwo abantu ab'ensi be mulimu, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, bagulumize Katonda ku lunaku lw'alijjirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu.