1 Peter 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muyisa obubi ne bababonereza, ne mukigumiikiriza, mulimu kitiibwa ki? Naye singa muyisa obulungi, sso ne mubonerezebwa, naye ne mukigumiikiriza, ekyo Katonda akisiima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? Naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ttendo ki lye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonerezebwa olw'okukola ebibi? Naye bwe mugumiikiriza mu kubonyaabonyezebwa olw'okukola ebirungi, ekyo Katonda akisiima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.