1 Peter 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mmwe ng'amayinja amalamu muzimbibwemu ennyumba ey'omwoyo, obwakabona obutukuvu, muweereze ebitambiro eby'omwoyo ebisanyusa Katonda mu Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwamu ennyumba ey'Omwoyo mubeerenga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez'Omwoyo, ezisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujje gy'ali ng'amayinja amalamu, muzimbe ennyumba ey'omwoyo. Mu yo, mube bakabona abatukuvu, abaweereza ebitambiro eby'omwoyo, ebisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo.