1 Peter 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyova osanga mu Biwandiiko nti: “Laba, nteeka ejjinja mu Siyoni, ejjinja ery'entabiro, eddondobe, ery'omuwendo; oli alimukkiriza, taliswala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni, ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde, oyo eyeesiga Kristo, taliswazibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi; Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Nalonda ejjinja ery'omuwendo, kati lye nteeka mu Siyooni, libe ekkulu ery'entabiro. Era amukkiriza taliswazibwa”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi: Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.