1 Peter 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era “Ejjinja abantu kwe beekoona, lwe lwazi kwe beesittala.” Beesittala kubanga tebagondera kigambo nga bwe baali basuubirwa okukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era “Lye jjinja abantu lye beekoonako, lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era “Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula.” Beesittala kubanga tebaagondera kigambo, nga bwe baali baateekeddwa okukola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nti: “Lye jjinja abantu kwe beekoona; lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.” Beesittala, kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda. Bwe batyo bwe baateekerwateekerwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula; kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo.