1 Peter 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mmwe muli luse olulondobe, obwakabona obw'obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda ab'obwebange, okulangirira ebyamagero by'oyo eyabayita n'abaggya mu kizikiza n'abatuusa mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky'ekitalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe muli lulyo lulondobe, bakabona ba Kabaka, ggwanga ttukuvu, bantu ba Katonda bennyini, abaalondebwamu mulyoke mulangirire ebirungi bya Katonda eyabayita okuva mu kizikiza, okuyingira mu kitangaala kye ekyewuunyizibwa. 2:14; Yis 9:2
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo: