1 Peter 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye kimu, nammwe abakazi, mugonderenga babbammwe, abatakkiriza kigambo nga balabye abakyala baabwe nga bwe bayisa, bawangulwe nga temulina na kye mubagambye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bawaangulwenga si lwa bigambo naye olw'empisa z'abakazi baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo nammwe abakazi abafumbo, muwulirenga babbammwe, abamu ku bo bwe baba nga tebakkiriza kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw'empisa zammwe ennungi, nga temulina na kye mubagambye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe;