1 Peter 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga “eyeegomba ennaku ennyingi ez'okwesiima, oli ayagala obulamu, olulimi lwe alutangire obugwenyufu, n'emimwa gye agiziyize okwogera eby'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe, aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi, n’emimwa gye okwogera ebyobukuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, “Ayagala obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ayagala okufuna obulamu n'okubeera mu ddembe, aziyize olulimi lwe okwogera ekibi, n'emimwa gye okwogera eby'obukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Ayagala okwegomba obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa: