1 Peter 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga amaaso g'Omukama gatunuulira abatuukirivu, n'amatu ge gawuliriza essaala zaabwe. Naye amaaso g'Omukama agavulumulira abayisa obubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abatuukirivu Mukama abatunuulira n’ekisa, n’amatu ge gawuliriza bye basaba. Kyokka aboonoonyi abatunuuliza bukambwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe. Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abakola ebituufu, Mukama abatunuuliza kisa, era awulira bye basaba. Kyokka abakola ebibi abatunuuliza bukambwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.