1 Peter 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu mitima gyammwe Omukama Kristu mumutwalenga nti mutukuvu. Mwetegekenga bulijjo okwanukula obulungi buli yenna eyeebuuza ensonga kwe musinziira okusuubira mutyo, wabula mumwanukuzenga buntubulamu n'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe, nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama wammwe Kristo mumussengamu ekitiibwa mu mitima gyammwe, era mubenga beetegefu bulijjo okuddamu buli muntu ababuuza okunnyonnyola essuubi lye mulina,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe; nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya: