1 Peter 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmeeme yammwe mugikuumenga nga ntereevu, ababavuma bwe balaba bwe muyisa obulungi mu Kristu, baswale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era muddengamu n’obuwombeefu, awamu n’eggonjebwa. Mubenga ba mutima mulungi, abo ababavuma era ababoogerako ekibi olw’empisa zammwe ennungi olw’okuba nga muli ba Kristo, balyoke baswale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubeerenga n'omwoyo omulungi; bwe banabavumanga, abo ababoogerako obubi, olw'empisa zammwe ennungi mu Kristo balyoke bakwatibwenga ensonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wabula nga muddamu n'obuwombeefu n'eggonjebwa. Mubenga n'omutima omulungi, abo ababavuma era ababoogerako obubi olw'empisa zammwe ennungi ez'abagoberezi ba Kristo, balyoke baswale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mulina omwoyo omulungi; olw'ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibwenga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez'omu Kristo.