1 Peter 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
egy'abo luli abataawulira, naye Katonda n'abakwasa n'obugumiikiriza mu budde bwa Nowa, mu biseera ekyombo we kyazimbirwa, omwawonera abantu abatono bati, abantu munaana, abaawonera mu mazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Edda abataagonda, Katonda bwe yabagumiikiriza, mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyazimbibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Egyo gye myoyo egy'abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng'akyabagumiikirizza, mu kiseera Noowa kye yazimbiramu eryato. Mu lyato eryo abantu abatono, bonna awamu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, emazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana: