1 Peter 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno batismu efaananako n'ekyo, ebawonya mmwe, si na kubaggyako kko lya ku mubiri, wabula ng'okwegayirira Katonda abawe emmeeme entereevu olw'okuzuukira kwa Yezu Kristu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okubatiza okugerageranyizibwa n'amazzi gano kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'Omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi ago gaali kabonero k'okubatizibwa, okubalokola mmwe kaakano. Okubatizibwa tekuba kunaazaako kko lya mubiri, wabula kuba kusaba Katonda atuwe omutima omulongoofu olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,