1 Peter 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga Saara bwe yawuliranga Yiburayimu, ng'amuyita mukama we. Nammwe muli bawala be bwe mukola ekirungi, nga temuleka kintu na kimu kubatiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga Saala bwe yagondera Ibulayimu, ng'amuyita omwami. Kale nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saara bw'atyo bwe yali. Yawuliranga Aburahamu, ng'amuyita mukama we. Oba mwagala okuba bawala be, mube ba mpisa nnungi, nga tewali kibatiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.