1 Peter 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe abasajja, muyisenga na bwegendereza bakazi bammwe, nga mumanyi nti bo ng'abakazi luse lunafu okubasinga, nga mubassaamu ekitiibwa, anti nabo ba kusikira nammwe ekirabo ky'obulamu; mukole mutyo okwegayirira kwammwe kuleme kusanga kiziyizo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe abasajja abafumbo, mubenga ne bakazi bammwe mu bulamu bwammwe obw'obufumbo, nga mumanyi nti bo mu kikula kyabwe banafu. Mubassengamu ekitiibwa, kubanga nabo Katonda alibakwatirwa wamu nammwe ekisa ekiwa obulamu. Olwo essaala zammwe teziibengako kiziziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.