1 Peter 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibi temukisasuzanga kibi, wadde okuvuma okukusasuza okuvuma; wabula oli mumusabirenga mukisa; anti ekyo kye mwayitirwa, nammwe musikire omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuwooleranga ggwanga. Abavumye, mmwe temumuvumanga. Wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke muweebwe omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuwalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, mubeere abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo akoze ekibalumya, mmwe temumukolanga kibi. Abavumye, mmwe temumuvumanga, wabula mumusabirenga mukisa, kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke mufune omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.