1 Peter 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu yafuna ekitone, akikozesenga ku lwa munne nga bwe kigwanira abawanika abalungi ab'ebitone bya Katonda eby'enjawulo:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu nga bwe yaweebwa ekirabo, mukikozesenga mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mube bawanika abalungi, Katonda be yakwasa ebirabo bye ebya buli ngeri. Buli omu ekirabo kye yafuna akikozesenga okugasa abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu;