1 Peter 4:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ayogera, ayogere ng'awa obubaka bwa Katonda; aweereza, aweereze ng'akola ku lwa maanyi Katonda g'awa, Katonda alyoke agulumizibwe mu byonna ku bwa Yezu Kristu Mukama waffe, nnyini kitiibwa n'okufuga emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali, mu byonna Katonda agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ayogera, ayogere ebigambo Katonda by'amuwa okwogera. Oyo aweereza, aweereze n'amaanyi Katonda g'amuwa, mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.