1 Peter 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula musanyuke nti nammwe mugabanye ku kubonaabona kwa Kristu, olwo mulyoke musanyuke, mujaguze ekitiibwa kye bwe kiryolekebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye musanyukenga, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, era nate mulyoke musanyukenga n'okujaguza ekitiibwa kye bwe kiribikkulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula musanyukenga olw'okugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ekitiibwa kye bwe kirirabika, mulyoke mujjule essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.