1 Peter 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu mmwe muleme kubaamu abonaabona kubanga mutemu, mubbi, mukozi wa bubi, oba mutabuzitabuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waleme kubaawo n'omu ku mmwe abonyaabonyezebwa nga bamulanga okuba omutemu oba omubbi, oba omukozi w'obubi, oba eyeeyingiza mu by'abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: