1 Peter 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lye mumaze nga muyisa ng'abakafiiri bwe bayisa limala, nga mugoberera obugwenyufu, amaddu, obutamiivu, ebiduula, okujanjaala n'ekitakkirizibwa eky'okusinza ebitaliimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyayita mwafuna obudde obumala okukola ebyo abantu ab'ensi bye baagala. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw'omwenge, ne mu kusinza ebitali Katonda, sso nga kwa muzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: