1 Peter 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafu abo newandibadde nga ku nsi baalamulibwa ng'omuntu yenna bw'alamulibwa, naye kubanga nabo wa kubalamula, kyebaava babuulirwa Evangili, basobole okutuuka ku bulamu bwa Katonda mu mwoyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno ye nsonga Enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafu baasalirwa omusango ng'abantu abalala, nga bakyali mu bulamu obw'omubiri. Kyokka nabo baategeezebwa Amawulire Amalungi nga bamaze okufa, balyoke babe balamu mu mwoyo nga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.