1 Peter 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkubiriza abakadde abali mu mmwe, nze nga mukadde munnammwe omujulirwa w'ebibonoobono bya Kristu, era aligabana ku kitiibwa ekijja okwolekebwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano neegayirira abo abakulembeze mu mmwe. Nange ndi mukulembeze munnaabwe, eyalabirako ddala ku kubonyaabonyezebwa kwa Kristo, era abalirwa mu abo abaligabana ku kitiibwa ekigenda okulabika. Mbeegayirira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mbuulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulibwa: