1 Peter 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga mumaze okubonaabonamu akabanga, Katonda nnyini kisa kyonna, eyatuyita okugabana ku kitiibwa ekitaggwaawo mu Yezu Kristu, ye ajja kubazzaawo, abanyweze, abagumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, Katonda nnannyini kisa, eyabayita okugabana awamu ne Kristo ku kitiibwa kye ekitaggwaawo, ye yennyini alibazza mu mbeera ennungi, alibanyweza, era alibawa amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Katonda ow'ekisa kyonna, eyabayitira ekitiibwa kye ekitaggwaawo mu Kristo, bwe mulimala okubonyaabonyezebwako akaseera akatono, ye yennyini alibatuukiriza, alibanyweza, alibawa amaanyi.