1 Peter 5:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Neeyambye Siluvano owooluganda omwesigwa okubawandiikira mu bimpimpi nga mbeegayirira, n'okukakasa nga bwe nkakasa, nti bino y'eneema ya Katonda. Muginywereremu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebbaluwa eno nzija kugikwasa Sirwano, gwe mmanyi nga waaluganda mwesigwa ddala, agibaleetere. Nsuubira nga mbazizzaamu amaanyi mu bbaluwa eno, era nga mbalaze engeri Katonda gy’agabamu ekisa kye ekingi. Ebyo bye mbategeezezza bibayambe okunywerera mu kwagala kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbawandiikidde ebbaluwa eno ennyimpi nga nnyambibwako Siluvaano owooluganda, gwe mmanyi nga mwesigwa. Ngibawandiikidde nga mbakakasa nti ekyo kye kisa kya Katonda kyennyini, era nga mbakuutira okukinywereramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbaweerezza ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono, nga mbabuulirira, ne mbategeeza ng'ekyo kye kisa eky'amazima ekya Katonda; mukinywererengamu.