1 Peter 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo ali mu Babiloni, eyalondebwa nga mmwe, abatumidde; era ne mutabani wange Mariko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balonde bannammwe mu kkanisa y’e Babulooni, babalamusizza. Ne mutabani wange Makko naye abalamusizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko omwana wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Babilooni, nakyo ekyalondebwa Katonda nga mmwe, kibalamusizza. N'omwana wange Mariko naye abalamusizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munnammwe abalamusizza; ne Makko mwana wange.