1 Peter 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulabirirenga eggana lya Katonda eryabakwasibwa, si na buwaze, wabula lwa kwagala nga Katonda yennyini bwe yandikoze. Temugobererangamu magoba agaswaza, wabula mukoze kwagala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala; so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo ogwewaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulunde eggana lya Katonda eryabakwasibwa. Mulirabirire nga Katonda bw'ayagala, si lwa buwaze, wabula nga mwagala. Mukole n'omwoyo ogwewaayo okuweereza, nga temululunkanira kufuna mpeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw'ayagala so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo;