1 Samuel 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna yali anyolwa mu mutima, n'asaba ew'Omukama ng'akaaba nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaana omwoyo gwe gwali gumuluma nnyo, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanna yali munakuwavu mu mwoyo. N'asaba Mukama, era n'akaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omwoyo gwe gwali nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akaaba nnyo amaziga.