1 Samuel 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeeyama ew'Omukama ng'agamba nti: “Ayi Mukama w'Amagye, bw'oliba olabye n'otunuulira okubonaabona kw'omuzaana wo, n'ojjukira omuzaana wo, n'otomwerabira, n'omala omuwa omwana ow'obulenzi, ŋŋenda kumuwa Omukama ennaku zonna ez'obulamu bwe; akamwano tekaliyita mu mutwe gwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti, “Ayi Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo gyendabye, n'onjijukira n'otonerabira, naye n'ompa omwana ow'obulenzi, nange ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so ne nviiri ze tezimwebwengako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeeyama ng'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye bw'onontunuulira nze omuzaana wo, n'olaba okubonaabona kwe ndimu, n'onzijukira, era n'otanneerabira, n'ompa omwana ow'obulenzi, ndimukuwa ennaku zonna ez'obulamu bwe, era enviiri ze, teziimumwebwengako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeeyama obweyamo n'ayogera nti Ai Mukama ow'eggye, bw'oliba ng'otunuulidde ennaku omuzaana wo z'alabye, n'onjijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwe, so n'akamwano tekaliyita ku mutwe gwe: